Katonda ayagala tuleme kuba na kutya kwonna. Tayagala tubeere mu kikangabwa oba entiisa, era tayagala okutya kutulemese kukola ebyo by’atugambye tukole. Bwe tuba tulina okutegeera okukwata ku kwagala kwa Katonda gye tuli, tukitegeere nti anaafangayo ku buli kintu ekitukwatako – ekyo bwe tukimanya kitununula mu kutya oluvannyuma. Nga bwe tubadde ne Katonda okumala ebbanga ne tulaba nti atufaako buli kaseera n’atuwa n’ebyetaago byaffe, tutandika okugayaala.
Download